Amawulire

Olukwe oluluma Yuganda luwedde- Poliisi esabye abantu okwerinda

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Enanga

Poliisi yakuno eyongedde amaanyi mu kuyigga abagambibwa okubeera abatujju 9 abagala okulumba eggwanga.

Poliisi yakuno kati ekolagana n’ezamawanga agaliranyewo okugwa mu buufu b’wabakambwe bano nga era kuliko  lbrahim ahmed, Mohamad nur Aden, Abdirazack Hirsi Yusuf n’abalala bataano.

 Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba basindisse dda ebifananyi by’abantu bano eri ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju, ekitongole ekiwooza ky’omusolo n’ebitongole ebikuumaddembe ebirala okubeera obulindaala.

Agattako nga bwebasindise dda basajja baabw mu buli kanyomero akayingira eggwanga akayinza okukozesebwa bano okwesogga eggwanga.