Amawulire

Olw’aleero g’emattikira ga Kabaka

Olw’aleero g’emattikira ga Kabaka

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Olwaleero Obuganda bugenda bw’akuwuuma nga Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, akuza amattikira ge agomulundi ogwa 26 ku Namulondo yaba jajja be.

Entikko y’emikolo egenda kubeera ku ttendekero lya Nkumba University mu town kanso ye Katabi mu sazza lya Beene erye, Busiro.

Sultan we Sokoko mu gwanga lya Nigeria, Muhammadu Sa’ad Abubakar 111 ye miugenyi omukulu ku mukolo guno, ogusubirwa okubaako namungi womuntu nobugombe.

Kati Sultan waakwanirizibwa mu bwakabaka bwa Buganda mu butongole ku Lowkutaano lwa wiiki eno mu lubiri lwa Ssabasajja Kabaka e Bulange Mengo.

Oluvanyuma waakukyalira jajja wobusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge Kakungulu nga ne Juma waakujikwatira ku muzikiti e Kibuli.