Amawulire

Olwaleero lunnaku lwa ‘Luwum Day’

Olwaleero lunnaku lwa ‘Luwum Day’

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Bann-Uganda olwaleero bagenda kwegatta awamu okujaguza olunnaku lw’eyali Ssabalbirizi olwa Janani Luwum day.

Olunnaku luno lukwatibwa buli nga 16 February, okujjukira obulamu bwomugenzi Luwum, eyali yawaayo obulamu bwe okuwereza nokulwanyisa obutali bwenkanya mu gwanga.

Ono yali Ssabalabirizi we kkanisa ya Anglican, ngatwala ekitundu kya Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire.

Yali mukulembeze wa ddoboozi ngakolokta neyali omukulembeze wegwanga, omugenzi Idi Amin ku byalinga bitatambula bulungi.

Yattibwa nga February 16, mu mwaka gwa 1977, oluvanyuma lwokuyisa ekiwandiiko ngawakanya ekiwamba bantu n’ekitta bantu mu gavumenti ya Amin.

Bannadiini bangi babalanga okubeera abawagizi bomugenzi Milton Obote, omukulembeze wegwanga gwebaali bamamudde ku ntebbe nadukira mu buwanganguse.

Kati emikolo gyegwanga emitongole gigenda kubeera ku kisaawe e Kololo, nga gisubirwa okwetabwako omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni.

Mungeri yeemu abakulembeze mu mambuka ga Uganda basabye omukulembeze wegwanga, okukola nga bwayogera alwanyise ettemu,okuwamba nebikolwa ebyokutulugunya bannansi.

Okusaba kuno kukoleddwa omubaka we Obongi Kaps Fungaroo ngagambye nti kkyekisaanye okukolebwa ddala olunnaku lwa Luwum Day, bwerunaaba lwakukola amakulu.

Agamba nti ebikolwa byebimu omugenzi gwebajaguza byeyali avumirrra nokulwanyisa, bikyaliwo mu gwanga lino.

Fungaroo agambye nti kino kyekisaanye okusimbako amannyo, okukozase aolunnaku luno okuvumirirra noukola obweyamu obwanamaddala okubilwanyisa.