Amawulire
Olwaleero lunnaku lwa nnimu enzaliranwa
Bya Ivan Ssenabulya
Zzi gavumenti nabantu abakwatibwako, basabiddwa okutumbula ennimi enzaliranwa okubeera n’ekintabuli.
Basabidwa okukubiriza abaana okukozesa ennimi zaabwe enzaliranwa, ku masomero, awaka nemu bitundu awamu gyebabeera.
Omulanga gukubiddwa Audrey Azoulay, tsenkulu wekitongole kya UNESCO, ku lunnaku luno ngensi yonna ekuza olunnaku lwe nnimi enzaliranwa oba International Mother Language Day.
Ono agambye nti kikulu nnyo mu kiseera kino, kubanga ebibalo biraga nti abantu 40% mu nsi tebasoma bulungi kubanga basomesebwa mu nnimi zebatayogera era zebatategeera.
Kati UNESCO eraze obwetaavu, okufaayo ennyo ku nsonga yokutumbula ennimi ezenjawulo, mu byenjigiriza buli omu okusomera mu lulimi lwategeera.
International Mother Language Day lunnaku abe gwanga lya Bangladesh lwebalwana ennyo okulaba nga luberawo, era lwamala nerutongozebwa mu mwaka gwa 1999, mu ttabameruka wa UNESCO era okuva mu 2000 lubaddenga lukuzibwa.
Kati luvugidde ku mubala “Fostering multilingualism for inclusion in education and society,” oba okutumbula ennimi ezenjawulo, obutaleka muntiu yenna mabega mu byenjigiriza.