Amawulire

Olunnaku lwa Ssiriimu: Obwenkanya bwetagisa

Olunnaku lwa Ssiriimu: Obwenkanya bwetagisa

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Gertrude Mutyaba

Ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte, ku mutendera gwensi yonna ekirwanyisa ssiriimu United Nations Program on HIV/AIDS oba UNAIDS bakubye omulanga nti kyekubiira nobutali bwenkanya mu lutalo lwokulwanyisa ssiriimu, busaanye bukome.

Kino bagamba nti gugenda kubeera muziziko gwamaanyi, eri ekirubirirrwa kyebalambika okulwanyisa ssiriimu okumulinnya ku nfeete, omwaka 2030 wegunatukira.

Buno bwebubaka obugoberedde olunnaku lwa ssiriimu munsi yonna olwa World Aids D, olukwatibwa olwaleero buli nga 1 Decemba.

Ssenkulu wa UNAIDs Winnie Byanyima alabudde nti mukenenya kakyali katyabaga eri ensi yonna, ngokukwatira awamu kitole kyekijja okuyamba okumulwanyia okumulinnya ku nfeete.

Agambye nti bingi ebyali bitukiddwako ate ebitotoganye mu kiseera kya ssenyiga omukambwe, wabula awabudde nti amaanyi getaaga okuteeka wansi mu bantu eyo mu bitundu gyebawangaliira.

Mungeri yeemu, emyaka giweze 40 bukyanga omusajja eyasooka okukeberebwa akawuka ka Siriimu mu Uganda ava mu bulamu bw’ensi.

Golodian Kivumbi yali mutuuze ku kyalo Magango, mu muluka gwe Ggwanda, mu gombolola ye Kyebe mu disitulikiti ye Kyotera, eyakutulwa ku Rakai.

Ono yalwala naafa mu mwaka gwa 1982, obulwadde bwa mukenenya bwebwali bwakajja mu gwanga.

Okusinziira ku mutabani w’omugenzi, okuva kitaawe lweyafa, abantu bangi okuva mu bitongole eby’enjawulo naddala ebyanakyewa bizze bibatukako oluvannyuma lw’okizuula nti omugenzi yeyasooka okukeberebwa mu ddwaliro e Tanzania naazulibwamu obulwadde bwa Mukenenya.

Omugenzi yazaala abaana 9 wabula 5 z’embuyaga ezikunta nga nabo baafa mukenenya.

Kiganda mutabani womugenzi, tumusanze waka, wabula yalwala amagulu takyasobola kugenda kuvuba era agambye nti amaato ge abasirikale baagasanyawo.

Agambye nti yafuuka eky’okusekererwa ku kyalo, olwebyafaayo byabwe, waddenga ye mulamu ssi mulwadde wa mukenenya.

Ono anyonnyodde nt, kitaawe weyafunira obulwadde buno, kigambibwa empiso eyakozesebwa okumujanjaba yeyakubwa abamu ku baganda be ekyabavirako okufuna obulwadde obwatwaliramu ne nnyina.