Amawulire
Olwaleero lunnaku lwabagalana
Bya Ritah Kemigisa
Bann-Uganda olwaleero begeasse kunsi yonna okukuza olunnaku lwabagalana oba Valentine’s Day.
Mu mbeera eno abantu basabiddwa okulaga omukwano eri abalwadde ba epilepsy, ekirwadde kyobwongo naddala mu baana.
Olunnaku olwaleero, lwerumu olukozesebwa okwefumintiriza kubulwadde buno olwa International Day of Epilepsy nga lukwatibwa buli Bbalaza eyokubiri mu mwezi mu February.
Okusinziira ku Dr Richard Idro, omukugu eyebuzibwako, nga yali pulezidenti wabasawo wansi wa Uganda Medical Association, abaana 5 ku buli baana 500 balwadde ba epilepsy.
Ekyennaku agambye nti abaana bano babolebwa, mu masomero nabamu obutaweebwa mukisa okusoma, olwebyo abantu byebawanuuza nokukiriza ku baana bano.
Dr Idro agambye nti newankubadde obulwadde buno buva ku buttoned, naddala obulemu ku bwongo, busobola okujanajabibwa nokwewalika okuyita mu magezi agekikugu okuva mu basawo.
Mu Uganda, abaana emitwalo 45 mu 90 kiteberezebwa bebalwadde ba epilepsy.