Amawulire

Olwaleero lunnaku lwabakyala

Olwaleero lunnaku lwabakyala

Ivan Ssenabulya

March 8th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye

Uganda yegasse kunsi yonna olwaleero okukuza olunnaku lwabakyala, International Women’s Day.

Olunnaku luno lwabangibwawo okusiima emirimu ejikolebwa abakyala nokwongera okulaga obukulu bwabwe eri ensi nebitundu gyebawangaliira.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe ayozayozezza abakyala oktuuka ku lunnaku luno, era nasiima byonna byebakola ne ttofaali lyebagatta kunsi.

Wabula abasabye okusigala nga bawulize wakati mu kugezaako okutembeeta eddembe yabwe.

Agambye nti omwenkano gusoboka okutukibwako okuyita mu buwlize nobkakamu, saako okukuuma ekitiibwa kyamaka nekitiibw akyabwe.

Kattikiro era awanjagidde gavumenti okwongera okutema empenda nomwaganaanya mu bifo byobukulembeze eri abakyala.

Olunnaku luno luvugidde ku mubala mu lunyanyimbe, Gender equality today for a sustainable tomorrow.”

Mungeri yeemu abyizvu basabye abakozesa, okuwa abakyala omukisa okwolesa obusobozi bwabwe obwobukulembeze.

Wewaawo waliwo alipoota eziraga nti abakyala beyongedde mubifo by’obukulembeze ku mirimu nemuzi gavumenti, naye batono abali mu bifo ebynekizo era ebisalawo ku mirimu egikolebwa.

Omulanga guno gukubiddwa ssentebbe owa Uganda Media Women’s Association, Dr Patricia Litho ngagambye nti abakyala balina obusobozi.

Kino agambye nti kisoboka kubanga, abakyala bayita mu kutendekebwa kwekumu ngabasakka.

Alaze obwetaavu okwongera okukutula enjegere ezisiba abakazi ezekuusa ku buwangwa ne diini, abakyala lwebanasobola okuyitimuka.

Bbo ababaka ba palamenti abakyala basomozeddwa nti bakozese omukisa gwebalina ne ddoboozi ngabakulembeze, okulwanyisa byonna ebikyanyigiriza bakyala banaabwe mu gwanga.

Bwabadde ayogera naffe, ssentebbe owakakiiko akalwanyisa obuseegu mu gwanga aka Anti-pornography committee nga ye Dr Annette Kezaabu agambye nti kyannaku okulaba abakyala abali waggulu nga basirika ku binyigiriza bakyala banaabwe.

Kati abasomozza nti babaguke okuva mu bifo byebalimu okuyamba bakyala banaabwe.