Amawulire
Olwaleero lunnaku lwabasomesa
Bya Ritah Kemigisa
Ebitongole byekibiina kyamawanga amagatte bisabye amawanga, bulijjo okuteeka ssente eziwerkao mu basomesa.
Bagamba nti kino kinaaba kyankizo mu ntekateeka yokuzukusa ebyenjigiria, ebyasanyala, nga gwemulanga ogukubiddwa awamu olwaleero ngensi yonna ekuza olunnaku lwabasomesa.
Bino webijidde nga kyenkana emyaka 2 okusoma kwagotaana, olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyebafulumizzza, okusoma okuddamu okutojjera kutekeddwa okutandikira ku mbeera ennungi eri abasomesa ate nga batendeke ekimala.
Basabye nti okugema abasomesa nakwo kutekebwe ku mwanjo, nabakozi abalala mu masomero.
Basabye nti mu kukuza olunnaku luno obweyamu bukolebwe, okulaba ngokusoma kuddamu era kugende mu maaso.
Olunnaku lwa World Teacher’s day ku mulundi guno luvugidde ku mubala mu lunyanyimbe “Teachers at the heart of education recovery.