Amawulire

Olwaleero lunnaku lwabutonde bwamunsiko

Olwaleero lunnaku lwabutonde bwamunsiko

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Uganda olwaleero yegasse kunsi yonna, okukuza olunnaku lwobutonde bwomu ttale, olwa World Wildlife Day.

Olunnaku luno lukwatibwa buli nga 3 March, nekigendererwa okujaguza obutonde obwomunsiko, okuli ebibira nebisolo era nokumanyisa abantu ku bukulu bwabyo.

Kati emikolo gyegwanga egyolunnaku luno, gigenda kubeera ku Uganda Wildlife Conservation Education Centre (UWEC) e Entebbe, nga givugidde ku mubala “Recovering key species for ecosystem restoration” n’omulanga okuzaawo obutonde obubadde busanyewo.

Omumyuka womukulembeze wegwanga Jessica Alupo, eno yasubirwa ngomugenyi omukulu.