Amawulire
Olwaleero lunnaku lwakusiiga vvu
Bya Ritah Kemigisa
Olwaleero abakulistaayo batandise ekisiibo, ekitrandika n’olunnaku olwaleero olwokusiiga evvu oba Ash Wednesday.
Kati omulangira wa kkereziya Paapa Francis asabye abakulembeze munsi wonna, okuddamu okwekuba mu mitima, bafumintirize ku Katonda.
Bino abitadde mu bubaka bwe obwa Ash Wednesday, ngasabye abantu okusaba nokusiib ensi eberemu emirembe, okutasibwa okuva mu ntalo.
Wano alaze okutya ku lutalo olugenda mu maaso mu gwanga lya Ukraine, amawanga agenjawulo mwegakyaganidde okukaanya ne Russia okukomya olutalo luno.
Okusinziira ku mutukuvu Paapa, Katonda ayagala abantu bonna okuwangaliira mu mukwano ngaboluganda wabula ssi balabe.
Mungeri yeemu asabye abakulisitu okukolanga obulungi, eri banaabwe mu kisiibo.
Olwaleero lwerunnaku olutandika ekisiibo ekyennaku 40, okujjukira Yesu Christo byeyaitamu ngasiiba mu ddungu.