Amawulire
Omu afudde ate emmotoka zoononeddwa mu bubenje
Emmotoka mwenda zeezonoonese ekimotoka ekibadde kitisse sikulaapu bwekizitomedde
Akabenje kano kabadde wali ku stretcher e Ntinda
Atwala ebyentambula ku poliisi y’okuluguudo lwa Kiira, Emmanuel Erem agamba nti ekimotoka number UAG -726 C ebadde eva e Ntinda eremeredde omugoba waayo n’esabaala emotoka ezibadde zidda e Ntinda
Mu kabenje kano , omuntu omu y’alumiziddwa ng’ono ategerekese nga Patrick Okumu owe Ntinda
Mu ngeri yeemu era omuntu omu agambibwa okubeera owa bodaboda y’afudde bw’akoneddwa motoka kika kya Regius wali ku luguudo lwa Northern bypass ku nkulungo ye Kisaasi.