Amawulire
Omu y’afiridde mu kabenje ka pikipiki e Mpigi
Bya Sadat Mbogo
Omuntu omu afiiriddewo mu mbulaga n’omulala n’abuuka n’ebisago ebyamaanyi oluvannyuma lwa pikipiki bbiri okutomeregana mu kabuga ke Mpigi.
Abeerabiddeko bategeezezza ngabagoba ba pikipiki zombi, kika kya Bajaaj Boxer bwebabadde bafubutuka ku misinde egyakaweewo, aye omu neyekanga emmotoka ebadde eyingira ekkubo kwekwambalagana ne munne.
Omuddumizi wa poliisi mu district y’e Mpigi Joab Wabwire agambye akabenjekano kagudde okumpi ne wofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda, nga bombi tebanategerekeka bibakwatako.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago n’alumiziddwa bamuddusizza mu ddwaliro lya gavumenti erya Mpigi Health Center IV.