Amawulire

Omubaka Fungaroo y’ekubidde enduulu obulamu bwe buli mu matiga

Omubaka Fungaroo y’ekubidde enduulu obulamu bwe buli mu matiga

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga alagidde ssabapoliisi okuwa obukuumi omubaka wa Obongi county Kaps Hasan Fungaroo.

Kino kidiridde omubaka ono okwekubira enduulu mu palamenti nga agamba nti amaze ebbanga nga alina abantu abamuwondera buli wadda naye nga batambulira mu motoka za bebyokwerinda eza drone.

Fungaroo anyonyodde nti ye ne famile ye bali mu kutya okutagambika kuba tamanyi abamulinya akagere kye bagala

Sipiika era alagidde minisita owensonga ezomunda mu ggwanga anonyereze kublinya akagere Omubaka Fungaroo.