Amawulire
Omubaka Kefa Kiwanuka ye ssentebbe w’akakiiko k’ebyensimbi
Bya Ivan Ssenabulya ne Prosy Kisakye
Omubaka wa Kiboga East mu palamenti Kefa Kiwanika, alondeddwa nga ssentebbe wakakiiko ka palamenti akebyensimbi, era akavunayizbwa ku kutegekera egwanga.
Ono alanagiriddwa nampala wa gavumenti Thomas Tyebwa ngaganeda kumyukibwa Jane Avur Pacuto, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Pakwach.
Abalala ku kakiiko kano kuliko; omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, owa Ndorwa West Winfred Niwagaba nga bano basomeddwa nampala woludda oluvuganya gavumenti John Baptist Nambashe arenga kagenda kutulako nabatalina bibiina okuli omubaka wamasekati ga Kampala Muhamadh Nsereko, nabalala.
Ate omubaka omukyala owa disitulikiti ye Dokolo, Cecilia Ogwal awakanyizza aba FDC olwokumujja ku kakiiko k’embalirira mu plamanti nga kino kuyakoleddwa nampala wekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda.
Ogwal baamutadde ku kakiiko kamateeka mu palamenti.
Abalala, omubaka wa Kilak North Anthony Akol, omubaka omukyala owekibuga Soroti Anne Adeke bebatereddwa ku kakiiko kembalirira, ngomubaka Ogwal awakanya ekyobutamutekako.
Wabula amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among yawabudde nti ensonga eno, bajimalire munda mu kibiina.
Mungeri yeemu, palamenti yaakukeberanga abbaka nabakozi, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe buli luvanyuma lwebbanga eggere.
Kino kyabukuddwa omumyuka wa sipiika Anita Among, eyakubirizza olutuula akawungeezi akayise palamnweti bweyabadde ezeemu oluvanyuma lwomwezi mulamba.
Ono yagambye nti ababaka batekeddwa okugoberera amateeka nebiragiro bino, mu kawefube wokulwanyisa ssenyiga omukambwe.