Amawulire

Omubaka Moses kasibante akwatiddwa

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Kasibante nnn

Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante akwatiddwa.

Kasibante bamukutte ava ku poliisi ya kampala mukadde gy’abadde agenze okweyanjula .

Ono assiddwa mu mmotoka kabangali ebaddemu abasajja abali mu leeya nga bavuze boolekera oluguudo lwe Hoima.

Omubaka akiikirira municipaali ye Mukono, Betty Nambooze Bakireke agamba nti bamaze nebakizuula nti ono bamuggalidde ku poliisi ye Kakiri.

Kyokka ono agamba nti poliisi ebategeezezza nga bwebabadde balina ekiwandiiko kya kooti ekikkiriza okukukwata Kasibante kyokka ngekibewunyisizza kwekulaba ng’ate bamutwala Kakiri.

Ono era agamba nti bakitegeddeko nti poliisi eri mu lukwe lw’okukwata abo bonna abategeka okwegatta ku meeya ng’atambula adda mu ofiisi ye olunaku lw’enkya

Akulira poliisi ya kampala mukadde Jerome Mwesigye akakasizza okukwatibwa kwa Kasibante kyoka nga yye agamba nti tamanyi gy’ali.