Amawulire
Omubaka Moses Okia agobeddwa mu palamenti
Bya Ruth Anderah,
kkooti eno egobye omubaka wa soroti city east mu palamenti, Moses Okia, eragidde okulonda kuddibwemu nga bagoberera ebifo ebituufu ebirondebwamu.
Abalamuzi 3 okuli Cheborion Barishaki, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bakkiriziganyiza nómulamuzi wa kkooti enkulu e Soroti, eyasooka okuwakanya okulondebwa kwa Okia bweyategeeza nti kyali kikyamu akakiiko ke byokulonda okulondesa nga emiruka okuli Aloet ne Opilyai gigibwa mu bifo eborondebwamu ne babiteeka mu konsituwense ya Soroti City West
Abalamuzi abategezeza nti ekikolwa ekino kyavirako abalonzi abasoba mu 5400 okukyusibwa ne balondera mu Soroti City West songa sig ye balina okulondera.