Amawulire

Omubaka Nkunyingi awakanyiza ebyayogedwa Minisita ku Bankuba kyeyo

Omubaka Nkunyingi awakanyiza ebyayogedwa Minisita ku Bankuba kyeyo

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita mu gavumenti ey’ekisiikirize ow’ensonga ez’ebweru weggwanga eranga ye mubaka wa Kyadondo East, mu lukiiko lweggwanga olukulu, Muwada Nkunyingi, awakanyiza ebyayogeddwa minisita ew’ekikula ky’abantu nábakozi ku bakozi bannayuganda abanobabonera mu ggwanga lya United Arab Emirates.

Bwayabadde ayogera eri bannamawulire mu mu ssabiiti eno, Betty Amongi yategeezezza nti abakozi ababonabonera mu UAE bali 452 bokka nga bano baayingira eggwanga eryo nga beyambisa visa za balambuzi nókukyala nga balowooza nti bakufunayo emirimu mu bwangu wabula visa zabwe zagwako nga tebafunye mirimu kati babeera ku nguudo.

Yagasseeko nti gavumenti ya UAE yasonyiwa ekibinja kyabantu bano era nessuubiza okubawa tikiti ez’obwereere bazzibwe e Uganda.

Wabula Nkunyingi alumiriza nti yali mu ggwanga eryo ennaku ntono emabega era nazuula nga waliwo Bannayuganda abasoba mu 3000 ababonaabona ekikontana n’ebyo minisita bye yayogedde.

Ono era ategeeza nga bweyafuna omukisa okwogerezeganyamu n’omubaka wa Uganda mu UAE eyamugamba nti talina ky’amanyi ku nteekateeka yonna ey’okuzza bannansi ba Uganda mu kubwerere.

Era n’asoomoozebwa okuwaayo obujulizi obulaga nti UAE yatuuse ku nzikiriziganya ne Uganda ey’okuzza abantu bano. ku butaka.