Amawulire

Omubaka Nsereko ne Mayor Rulinda balondebwa mu butuufu-Kooti

Omubaka Nsereko ne Mayor Rulinda balondebwa mu butuufu-Kooti

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Kooti Enkulu mu Kampala ekakasizza Mayor w’ekibuga Ntebe Fabrice Rulinda nga Mayor omulonde ow’ekibuga ekyo.

Kiddiridde ensalawo ya Court eno, oluvanyuma lw’eyali Mayor Kayanja Vincent de Paul okwekubira enduulu ng’aloopa Rulinda Fabrice n’akakiiko k’eby’okulonda okwekobaana nebamubba akalulu.

Kati ensalawo ya Kooti eno esomeddwa omumyuka w’omuwandiisi wa Kooti Jamson Karemani eyongedde kukakasa nga Rulinda bweyalondebwa mu butuufu.

Omusango guno gubadde mu maaso g’omulamuzi Jesse Byaruhanga.

Mu buufu bwebumu, n’omubaka wa Kampala Central mu Parliament Mohamad Nsereko naye akakasiddwa ng’omubaka omulonde Kooti yemu  eno Enkulu, mu musango ogubadde gwamuwawabibwa gweyavuganya Nyanzi Ssentamu.

Court era eragidde Nyanzi okulinyilira Nsereko ensimbi zonna zayonoonye mu musango guno.

Omulamuzi Jesse Byaruhanga mu nsala ye ategeezezza nga Nyanzi bwatalina bujulizi bumala kumatiza Court nti waliwo ekobaane ne offiisi y’akakiiko ak’eby’okulonda okumumma obuwanguzi bwayogerako.

Omumyuka w’omuwandiisi wa Kooti Jamson Karemani, era yasomye ensalawo y’omulamuzi Jesse Byaruhanga mu musango guno.