Amawulire
Omubaka Sseggona akwatiddwa
Omubaka wa Busiro mu buvanjuba Medard Lubega ssegona akwatiddwa .
Akwatiddwa nga ayogerako eri abatuuze bokukyaalo Nabaziza e Kyengera abakedde okwekumamu ogutaaka nga bawakanya eky’abantu abatandise okuyiwa ettaka mu kitoogo kyomukitundu kino.
Munnamateeka we era omuloodi wa Kampala Erias Lukwago agamba nti Segona abadde agezaako kukkakkanya bantu kyokka nga poliisi ate emukutte lwakukuma mu bantu omuliro.
Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga akakasizza okukwatibwa kwa ssegona.