Amawulire
Omubaka William Oketcho afudde
Omubaka eyali akiikirira abantu be West Budama North afudde
William Oketch yafudde mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero
Mutabani w’omugenzi Val Oketcho agambye nti kitaawe yafudde akawungeezi g’eggulo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lw’okusanyalala.
Omugenzi abadde ssentebe w”ekitongole ky’amazzi ekya National water and sewerage ate era yaliko ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira.
Oketcho yawangulwa mu mwaka gwa 2011 oluvanyuma lwa kooti ya ssemateeka okuwera ababaka abagwa mu kamyufu k’ebibiina ate nebesimbawo ku lwaabwe