Amawulire

Omubbi w’enkoko bamwocezza

Omubbi w’enkoko bamwocezza

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Rakai ebakanye n’omuyiggo ku bbiina lyabatuuze abakakanye ku musajja gwebatebereza okubeera omubbi w’enkoko nebamutta, n’omulambo gwe nebagutekera omuliro.

Bino bibadde ku kyalo Nsese mu gombolola ye Kifamba ngomugenzi ye Joseph Mwanje amanyiddwa ennyo nga Mukono mu kitundu ekyo.

Okusinziira ku batuuze omugenzi baamukutte lubona nenkoko egambibwa okubeera enzibe ne banne abalala abatanaba kukwatibwa.

Enkoko zino zaabadde za Andrew Tyaba omutuuze mu kitundu ekyo.

Kati omwogezi Wa poliisi mu kitundu ekyo Paul Kangave akaksizza ebibaddewo, nategeeza nti okunonyereza kugenda mu maaso.