Amawulire
Omubiri gw’abadde Minisita Engola gutikiddwa ku nnyonyi egututte ku butaka gyabadde azaarwa
Bya Ritah Kemigisa. Omubiri gw’abadde Minister w’eby’abakozi Charles Okello Engola gutikiddwa ku nyonyi egitudde mu district ye Oyam ono gy’abadde asibuka, okukola emikolo egisembayo nga tannaba kuziikibwa ku lunaku lw’omukaaga olwa sabiiti eno.
Minister Engola yakubwa omukuumi we amasasi agamuttirawo omukuumi we Wilson Sabiiti ku lunaku lw’okubiri lwa sabiiti ewedde mu maka ge e Kyanja.
Oluvanyuma Sabiiti naye yawunzika yekubye amasasi gamujja mu bulamu bw’ensi ekyaviirako n’eggye ly’eggwanga okumasalira omusango ogw’obutamuziika mu bitiibwa ng’omujaasi wabwe afiiridde mu buweereza olw’ekikorwa kye kyebagamba nti kyali kimenya mateeka.
Okusinziira ku w’oluganda lw’omugenzi Sam Engola, abadde ku kisaawe e Kololo ng’omubiri gwono gutikkibwa, atubuulidde nti ennyoni ekika kya namunkanga yakugwa ku kisaawe kya Lira Secondary School n’oluvanyuma bagutwale mu kisenge awatuula abakiise ba district ye Oyam abaayo ogukubako eliiso evvanyuma.
Minister Engola y’abadde omubaka wa Oyam North mu Parliament ku ticket y’ekibiina ekiri mu bukulembeze.
Sam Engola ategeezezza nga bwebasuubira ekiteeso okuletebwa mu lutuula lwa council ya Oyam okutuuma olumu ku nguudo wamu ne gavumenti okuzimba essomero ebibulemu elinnya ly’omugenzi, olw’ebirungi byakoledde ekitundu ekyo.
Kyategerekese nti Omugenzi Engola, abaddeko n’ekkanisa gagadde gyazimba era ng’ebade enatera okumalirizibwa.
Engola wakuzikibwa ku lunaku olw’omukaaga mu district eye Oyam gyazaalwa.