Amawulire
Omudumu gwámafuta Oguzimbibwa okugenda e Tanga sigwakuyimirira
Bya Juliet Nalwooga,
Minisitule y’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka egamba nti entekateeka eyókuzimba omudumu gwámafuta ogugenda e Tanzania tegenda kukosebwa yadde banka yensi yonna yalangiridde nga bwetagenda kudamu kuwa Uganda buyambi.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku media center olwaleero, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka Peter Lokeris agambye nti balina emikwano emirala abagenda okusonda ssente z’emirimu gya minisitule eno.
Bino yabyogedde bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku nkulaakulana y’amakolero ga Uganda agasima eby’obugagga.
Mungeri yeemu Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi, ategeezezza Palamenti nti gavumenti egenda okuddamu okutunula mu mbalirira y’eggwanga, oluvannyuma lwa Banka y’ensi yonna okuyimiriza ensimbi eziweebwa Uganda oluvannyuma lw’okuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga.
Abikudde ekyama nti ssente z’abakozi ba gavumenti zandikosebwa.
Kino wekigidde nga Pulezidenti Museveni alumiriza Banka y’ensi yonna okukozesa ssente okugezaako “okukaka” gavumenti okutambulira ku ntoli za bazungu oluvanyuma lwokuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga .
Museveni yakkaatirizza nti Uganda egenda kukulaakulana yadde nga banka yensi yonna ennegima ensimbi.
Mu bubaka bwe yasindise ng’ayita ku mukutu gwe omutongole ogwa Twitter, Museveni yalaze nti ne mu biseera eby’emabega, looni nnyingi eziteetaagisa ezaayisibwa abakungu ba gavt nga tazimanyiko songa Uganda esobola okukulaakulana nga teyewoze nsimbi za bakyeruppe.
Pulezidenti yakkalambidde nti Banka y’ensi yonna ne bitongole bya bazungu ebirala tezigenda kukaka Bannayuganda kusuula nzikiriza yaabwe, obuwangwa, emisingi n’obwetwaze bwabwe, nga bakozesa ssente.