Amawulire
Omufere Akwatiddwa
Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujja obukadde 15 ku b’enganda z’omusawo avunanibwa okukuba omwana ow’emyaka 2 empiso ya siriimu nga abasuubizza omuntu wabwe okweyimirirwa awoze nga ava bweru.
Kob Mpango yakwatiddwa olwaleero ku kooti enkulu oluvanyuma lw’abenganda bano okumusalira amagezi nebamukubira essimu olwo poliisi nemukwata.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibn Senkumbi ategeezezza nga ono bwabadde yeyita omukozi w’omumaka g’omukulembeze w’eggwanga era omukozi wa kooti enkulu nga abadde wakutaasa omusawo Roasemary Namubiru akadukulu yeyimirirwe .
Ab’enganda bano baatandisea okwekengera era nga bakulembeddwamu Aaron Sembogga batukiridde poliisi nebemulugunya nga ono bweyali abagyeko obukadde 15.
Ssenkumbi agamba ono wakugulwako gwakwefuula kyatali n’okufuna ssente mungeri ey’olukujjukujju.
Ono alabudde abantu obutakolagana na bakayungirizi ku nsonga nga zino eza poliisi.