Amawulire
Omuggalo gukoseza okuwulira emisango 500 e Mubende ne Kassanda
Bya Dan Wandera
Ekitongole ekiramuzi kyolekedde okufulumya ebiragiro ebitongole ebikwata kukuwulira emisango mu disitulikiti ebbiri okuli Mubende ne Kasanda eziri ku muggalo gwa Ebola ogumaze ennaku 21.
Kino kikakasiddwa omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani.
Embeera eyómuggalo ku disitulikiti ebbiri, yakukosa empulira ye misango egisoba mu 500 egibadde girina okukolwako mu budde buno.
Emisango egikoseddwa kuliko egy’obumenyi bw’amateeka, egyekuusa ku butabanguko mu maka, egyebyobusuubuzi, n’egyekuusa ku ttaka egiri wansi womulamuzi wa kkooti enkulu e Mubende.