Amawulire

Omukago gwa Bulaaya bavumiridde okukwatibwa kwa Kakwenza

Omukago gwa Bulaaya bavumiridde okukwatibwa kwa Kakwenza

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2022

No comments

Bya Christine Nakyeyune

Omukago gwa Bulaaya mu Uganda bazeemu okubanja nti omuwandiisi, era omulwanirizi weddembe lyobuntu Kakwenza Rukirabashaija ayimbulwe.

Olunnaku lweggulo Kakwenza yawereddwa okweyimirirwa kooti ya Buganda Road, wbaula naddamu nakwatibwa nga yakafuluma ekkomera.

Okusinziira ku Eron Kiiza, omuntu we yakwatiddwa abantu abatanaba kutegerekeka nebamutwala.

Yye omwogezi wekitongole kyamakomera Frank Baine agambye nti Kakweza babadde bamuyimbudde mu butongole, okuva mu kkomera lye Kitalya era tebamanyi bimukwatako.

Kati abomukago gwa EU okuyita mu babaka bamawanga okuli Austria, Belgium, Denmark, France, Germany, Ireland, Italy, Netherlands, Sweden ne Norway abatuula mu Uganda baliko ekiwandiiko kyebafulumiza nga bawakanya ebyabaddewo.

Kino bagambye nti kyoleka butereevu engeri gyewataliiwo kussa kitiibwa mu nfuga eyamateeka, era basabye abakwatibwako okugobereranga enfuga eyamateeka.

Kakwenza avunanibwa musango gwakunyiiza mutabani womukulembeze wegwanga, omuddumizi wamagye agoku ttaka Lt. Gen Muhoozi Kaneirugaba nokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi.

Kigambibwa nti yasinziira ku Twitter nawandiika ebikaawa okukira omususa ku Gen Muhoozi.