Amawulire

Omukago gwa Bulaaya gukubye Uganda enkata ya buwumbi 15 n’obukadde 200

Omukago gwa Bulaaya gukubye Uganda enkata ya buwumbi 15 n’obukadde 200

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Omukago gwa Bulaaya ogwa European Union guliko obuwumbi bw’ensimbi obwenyongereza obuli eyo mu buwumbi 15 n’obukadde 200 gwebwongedde Uganda ziyambeko okuduukilir aobwetaavu bw’abantu ababundabunda abava ku muliraano mu gwanga lya DRC.

Ensimbi zino era zigenda kuyambako n’okukola ku kizibu ky’enjala eri mu bitundu by’e Karamoja ku nsalo n’eggwanga elya Kenya.

Commissioner akola ku nsonga z’obutabanguko mu mukago gwa Bulaaya Janez Lanarcic, agamba nti olw’omuwendo gw’ababunda bunda okweyongera mu Uganda awali abantu abalala abanoonyi b’obubado, bakilbye nga kyansonga okuvaayo nebabakwatizaako mu mbeera eno.

Mu bitundu by’e Karamoja, abantu abali eyo mu mitwalo egisoba mu 50 bebasulirira okufa enjala ani amuwadde akatebe olw’ekyeya n’ebbula ely’eby’okulya.

Kati omugatte gwa buwumbi 130 bwebwakawebwayo okuduukilira omulanga ogwa babaunda bunda n’enjala e Karamoja eri Gavumenti mu mwaka guno gwokka ogwa 2022.

Embeera y’obutali butebenkevu mu mu gwanga lya DRC erese ng’abantu abasoba mu mitwalo 5 mu 7000 nga baddukira mu Uganda mu mweezi gwa January.