Amawulire
Omukazi asse bba lwakuzaala musika bweru
Bya Abubaker Kirunda,
Omukyala mu disitulikiti yé Mayuge asimatuse okuttibwa abatuuze ku bigambibwa nti awadde bba obutwa obumugye mu budde lwa kuzaala omwana omulenzi mu mukazi omulala.
Omukyala ono mutuuze kukyalo Bumwena B ekisangibwa mu gombolola yé Malongo, abatuuze balumiriza nti yawadde bba obutwa mu mere ya matooke naafa.
Atwala ebyokwerinda ku kyalo kino Issa Maling, yataasiza omukyala okuvva ku batuuze ababadde batamye obugo.
Maling anyonyodde nti omukyala ono asse bba oluvanyuma lwokufuna endowooza nti omwana omulenzi gwazadde ebweru ayinza okusikira emmaali gye bakoze bombi ate nga ye talina mwana mulenzi mu bufumbo bwe.