Amawulire
Omukazi ayokerezza omwanawe mu nyumba
Omukazi ayombye nebba nava mu mbeera nayokya enyumba yaabwe omufiiridde omwana wabwe ow’emyeezi 3 ,sso nga basatu basigadde ku ssaala olw’ebisago ebyamaanyi byebafunye.
Bino bibadde e Kosovo Lungujja ku nkingizi z’ekibuga Kampala ku ssaawa nga munaana nga busaasana .
Aduumira poliisi ya Old Kampala Joram Mwesigye agamba omukazi ono, bba, n’omwana wabwe omulala bbo batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Amanya ga bano bonna teganategerekeka