Amawulire

Omukazi Ayombedde Mu Bbaala neyesuula Mu Kidiba

Ali Mivule

June 27th, 2014

No comments

 

seru

Mu disitulikiti ye  Rakai Omukazi o’wemyaka 50 yesudde mu kidiba oluvanyuma lw’oluyombo lweyafunye ne banywi banne  mu bbaala .

Venerandah Nzaliraki nga mutuuze we Kyampisi asangiddwa nga omulambo gwe guseyeyeza ku mazzi amakya galeero.

Beyabadde nabo bagamba nti munnaabwe ono yavudde mu bbaala eno nga tasalikako musale nga baabadde basubira nti yabadde agenze waka wabula kibabuuseko okumusanga nga afiiridde mu kidiba.

Omwogezi wa poliisi m u kitundu kino  Noah Sserunjoji agamba nti okunonyereza kukyagenda maaso nga era abantu 3 bebakakwatibwa  nga bebasembye okulabibwako  n’omugenzi.

omulambo gwanyuluddwa dda okutwalibwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.