Amawulire

Omukazi eyali yabula emyezi 2 emabega asangibwa ngayattibwa

Omukazi eyali yabula emyezi 2 emabega asangibwa ngayattibwa

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omukyala atemera mu gyobukulu 78 eyali yabula ku benganda emyezi 2 emabega azuulibwa nga mufu.

Omugenzi ategerekese nga Florence Namboozo nga mutuuze w’e Wambete mugombolola ekisangibwa mu disitulikiti eye Mayuge.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino Steven Mutalya agambye nti omulambo gwa Namboozo guzuuliddwa mu lutobazzi ku kyalo Wambete.

agamba nti omugenzi ateeberezebwa okuba nga yawambibwa abantu abatanategerekeka ne bamutta omulambo ne bagusuulayo.

Mutalya agambye nti poliisi etandise okunoonyereza okuzuula abali emabega w’okutta Namboozo.