Amawulire

Omukozi eyatulugunya omwana akkirizza emisango- gunsinze

Ali Mivule

December 8th, 2014

No comments

 

MAID TORTURES TWO

Omukozi  w’awaka eyalabikira mu katambi nga atulugunya omwana wa mukamawe  omusango agukkirizza.

Ono abadde alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabenda ku musango gw’okutulugunya omwana.

Yaaya ono Jolly Tumuhiirwe asoose kwetondera bazadde b’omwana gweyatulugunya era neyejusa ekikolwa kino era n’akkiriza nga bwegumusinga.

Gyebuvuddeko poliisi yali eyagala kukyuusa mpaaba ya musango guno gudde ku gw’okugezaako okutta omuntu guve ku gw’okutulugunya kwokka.

Omulamuzi kati alagidde Tumuhiirwe adde mu kkooti olwokusatu olujja bawulire omusango guno era bamusalire ekibonerezo ekimugyamu.

Tumuhiirwa y’alabikira mu katambi nga atulugunya omwana wa mukamawe nga amusottasotta wamu n’okumukuba ttoochi ku bubina ekyavumirirwa ennyo abantu abenjawulo