Amawulire
Omukozi eyatulugunya omwana asibiddwa emyaka 4
Omukozi w’awaka eyatulugunya omwana wamukamawe asibiddwa emyaka 4.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Buchyana amusaliddeko omwaka gumu ku kibonerezo eky’emyaka 5 ekisembayo ku musango guno.
Omulamuzi ategezezza nti yadde nga Jolly Tumihirwe 22 yemulugunya ku maama w’omwana naye okumutulugunya, omwana gweyabonyabonya y’ali talina musango kale nga kyeyakola kyaali kikyaamu.
Wano w’asabidde ab’ekkomera ly’e Luzira okulondoola ennyo eneyisa y’omukozi ono okulaba nga w’anaviira mu kkomera nga akyuusizzamu.
Gyebuvuddeko akulira oludda oluwaabi omukozi ono y’amugyako egy’okuyulugunya n’amuggulako gwakulumya Muntu nga era ekibonerezo ekisembayo ku musango guno kya myaka 5.
Tumuhirwe y’akwatibwa ku katambi nga atulugunya omwana wa mukamawe nga era kyavumirirwa nnyo abantu bonna.