Amawulire

Omukuumi asse omwana.

Ali Mivule

March 16th, 2014

No comments

 

 

convictee arrested

E iganga omukuumi okuva mu kitongole ekya blue light ekikola ogwo’bukuumi, akubye amasasi omwana ow’emyaka 12 n’amuttirawo.

Omukuumi ono ategerekese nga John Byavawala ,atemudde omwana ono oluvanyuma lw’okumujerega nti akutte emmundu ey’ekicupuli.

Omugenzi ategerekese nga Isma Bugira, atemera mu myaka 12 gyokka, era nga abadde muyizi mu ssomero erya Nababirye primary school e Nakalama mu kibiina eky’omukaaga.

Mathiew ottu nga ono yakola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e iganga, atubuulide nti mukaseera kano omukuumi akwatiddwa okusobola okuzuula ekimujje mu mbeera.