Amawulire

Omukyala eyatta bba akaabidde mu kkooti- saagenderera

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

NSenga wife today

Omukyala eyatta bba Jacqueline Uwera Nsenga,olwaleero yewozezzaako ku misango gino.

Ategeezezza omulamuzi Duncan Gaswaaga nti kituufu yatta bba Juvenile Nsenga kyokka nga yakikola mu butanwa

Omukyala ono alabise nga taliimu kutya kwonna agambye nti yafumbirwa omugenzi mu mwaka gwa 1994 era nga balina abaana babiri era nga baali basanyufu mu bufumbo gwaabwe mu bbanga eryasooka nga tebeekisa okutuuka mu mwaka gwa 2001 webatandikira okufuna ebizibu

Ono agambye nti ku lunaku lw’enyini bba lweyafa, yadda ewaka ku ssaawa ssatu z’ekiro era yakuba akade emirundi ebiri.

Omukyala ono agambye nti wano emmotoka yecanga era okwekanga n’akoonye oluggi gwa geeti olumu era bw’atyo n’akooneramu n’eyali amuggulidde gw’atamanya nti yali bba

Wano omukyala ono amaziga nga gamuyitamu ategeezezza nti yadduka okuyita bba ng’amanyi nti akoonye mukozi kyokka okulaba nga bba gweyali akoonye.

Omukyala ono agambye nti bba era yakola ekisoboka okumuddusa mu ddwaliro lya Paragon kyokka ng’eno gyeyafiira kubanga yali avuddemu omusaayi mungi

Omukyala ono era anyonyodde nti bukyanga bba afa, abadde arwaana okuddukanya eby’obugagga bya bba kyokka ng’abenganda bamuyingirira ekiyitiridde era nga batuuka n’okubissaako envumbo

Omusango guno gwakugenda mu maaso olunaku lw’enkya