Amawulire

Omukyala eyayambibwako Maama Wange Health Camp asumulukuse bulungi

Omukyala eyayambibwako Maama Wange Health Camp asumulukuse bulungi

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Khalil Ibrahim Manzil,

Nakazadde weggwanga eyakubyeewo ezadde ery’omwana omulenzi mu ddwaliro erya Kampala hospital atendereza nnyo enkola eyatekebwawo Kampuni ya Nation Media nga eyita mu Radio Dembe fm emannyiddwa nga Maama Wange Health Camp olw’okumukwatirako natuuka okusumuluka nga talina munwe gwa nusu gwasasuddeyo eri abamukozeeko ku ddwaliro lino.

Mukyala Nekesa Brenda ow’enzaala etaanu agambye nti kino bukya afuuka maama abadde tafuna nga mukisa bweguti ogw’okufuna obujjanjabi bwona nga bwabwerere

Mukudukirira kawefube ow’okutaasa abakyala abakosebwa n’obutafuna kuyambibwa mu kiseera nga bali mussanya eddwaliro erya Kampala hospital lyawa omukyala ono omukisa ogw’okumukolerako kubwerere

Ye kituunzi wa kampala hospital Blessing Ahereza agambye nti babadde balina okutukiriza obweyamo bwebakola ate nokulaga eggwanga nti kyebakola bakimanyi ate era bakyagala