Amawulire
Omulambo agwali gwasigala ku Ddwaliro e Bwera, abannyini gwo bazuuse
Bya Joel Kaguta,
Omulambo ogubadde gutanazuulwa bantu bagwo ogubadde gwasigala mu ddwaliro lya gavumenti erya Bwera General Hospital, kyadaaki bannyini gwo bazuuse ne bagutwala, oluvanyuma lwobulumbaganyi bwa bayekera ba ADF kusomero e Kasese.
Akulira eddwaliro lino, Clarence Bwambale Mumbahya agamba nti aba famire okuva ku kyalo Kyandobo-kerya, bakakasizza nti omulambo gwabwe era gwamusajja eyafa Silvester Masereka.
Omulambo gwa Masereka gwe gumu ku 25 poliisi gyeyaleeta okuva ku ssomero okugutwala mu ggwanika ly’eddwaliro kyokka ne gusigala nga tegulina baganda bagusaba okutuusa eggulo.
Okusinziira ku Mwami Mumbahya, Masereka yatambudde okuva mu tawuni ye Kasese akawungeezi ku lunaku obulumbaganyi we bwabererawo okugenda okulaba ku mugandawe ku kyalo Kyandibokerya, wabula bweyali atambula kwekugwa ku bayeyekera ba ADF ne bamuttirawo.