Amawulire
Omulambo e Namugongo- attiddwa banyina
Abatuuze be Kyaliwajjala Namugongo baguddemu entiisa bwebasanze omu ku munaabwe ng’agalamidde mu kitaba ky’omusaayi nga mufu wajjo
Omukyala ono abadde n’ebiwundu ebya maanyi ku mubiri gwe gwonna.
Kiteberezebwa nti omukyala ono atemeddwatemeddwa banyina ng’obuzibu bwonna nkayaana za ttaka
Atwala poliisi ye Kiira Peter Nkulega agamba nti batandise omuyiggo gw’abagambibwa okutemula omukyala ono era nga waliwo n’abamu beebamaze okukwata.