Amawulire

Omulambo mu nju

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Namaye

Poliisi e Mbuya eriko omulambo gw’omusajja gw’esanze nga guggaliddwa mu nyumba

Omugenzi abadde mukuumu ng’ategerekese nga Moses Oguchi

Omulambo gw’omusajja ono wabula tegusangiddwaako bitundu bya kyama era nga gugalamidde mu kitaba ky’omusaayi.

Allan Kagenyi nga ofiisa ku poliisi e Mbuya agamba nti omugenzi wabula n’obutakkaanya n’omusajja omulala gw’alumiriza okumwagaalira omukyala era ng’abadde n’ensonga zino yaziwaaba ku poliisi.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago