Amawulire
Omulamuzi alambudde amaka omwafiira omusajja eyatomerwa
Omulamuzi awulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta olwaleero atuuseeko mu maka awali akabenje kano mu maka g’omugenzi e Bugoloobi
Omulamuzi Duncan Gaswaga ng’ali wamu n’abakozi mu kkooti, omwogezi w’amakomera Frank Baine nebannamateeka z’omukyala ono kko n’ab’oludda lw’omusajja abadde agenze kulaba engeria kabenje gyekaliiwo
Ofiisi eyakola ku musnago guno John Bosco Munaku ategeezezza omulamuzi nti omulambop gwa Nsenga gwasangibwa metres 10 okuva ku geeti ate ng’emotoka yali ku mita 12
Kino kitegeeza nti emotoka yayita ku mugenzi
Uwera Nsenga kigambibwa okuba nga yakoona bba mu bugenderevu n’amutta oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya kyokka nga yye agamba nti yakikola mu butanwa
Omukyala ono enkya lw’agenda okwewozaako mu musango guno.