Amawulire
Omulamuzi wa Kkooti ensukulumu Opio Aweri afudde
Bya Ruth Anderah ne Prossy Kisakye,
Abadde omulamuzi wa Kkooti ensukkulumu Omulamuzi Riby Opio Aweri afudde.
Ekiwandiiko ekivudde mu siga eddamuzi ekikakasizza amawulire gano ag’ennaku.
Ssabalamuzi Alphose Owiny Dollo ategeezezang’omulamuzi Ruby bwafudde enkya ya leero mu dwaliro ekkulu e Mulago wabula nga tayasanguze kuvuddeko kufa kwe.
Omulamuzi Ruby Aweri yagatta ku sigga eddamuzi ng’omulamuzi wa kkooti y’eddala erisooka wabula aze akuzibwa okutuuka ku kkooti ensukkulu, ekifo kyabaddemu okutuusa wafiiridde.
Yalondebwa okubeera omulamuzi wa Court enkulu mu 1989 ‘oluvanyuma nakuzibwa okutuula ku Court ejulirwamu mu 2013.
Kati esigga eddamuzi ligamba nti lyakufulumya enteekateeka entongole ey’okumuziika mu kasseera akatali k’ewala.
Mungeri yemu Palamenti ekungubagidde omugenzi Opio .
Amyuka omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu, Thomas Tayebwa ayogedde ku mungezi ngómusajja abadde omukozi enyo era ayagala okulaba nti obwenkanya butuuka ku buli muntu.
Asaasidde abenganda zómungezi ne ggwanga olwókuvibwako omuntu owomugaso bwatyo.