Amawulire

Omulangira aterekebwa leero

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Ssimbwa

Omulangira David Ssimbwa eyaseerera wiiki ewedde asuubirwa okuterekebwa olunaku olwaleero wali ku masiro e Kasubi.

Wabula nga obuwangwa bwebulambika , ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi siwakuziika kitaawe ono kubanga Kabaka Taziika.

Olunaku olweggulo pulezidenti Museveni yatuuseeko mu maka g’omugenzi e Kabowa n’akungubagira omugenzi.

Pulezidenti yategezezza  nga ssimbwa bwabadde omulangira, omuganda ate munnayuganda nga y’ensonga lwaki yasalawo okukolagana naye.

Ono era yategezezza nga omulangira bwatabadde mukadde nnyo nti naye obuzibu bwatandika amaze okulongosebwa ensigo mu buyindi.

Ne Maama Nabagereka Sylvia Nagginda yatuuseeko mu maka g’omugenzi n’asasira abakungubazi