Amawulire
Omuliro gukutte essomero
Omuliro gusanyizawo bya bukadde oluvanyuma lw’okukwata ekisulo ky’abawala ku somero lya Nkutu memorial school e Iganga .
Abayizi bafiiriddwa emifaliso, ebitabo n’ebirala ebikozesebwa mu kusoma.
Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka.
Wabula amyuka RDC we Iganga David BBaale agamba abayizi ab’efujjo bandiba nga beebakumye omuliro guno.
Gyebuvuddeko abayizi bano bekumyeemu ogutaaka ne bekalakaasa olw’endya embi era bayonona ebintu ebitali bimu ekyavirako okugalwa kw’esomero lino.