Amawulire
Omuliro gusanyizaawo ebintu byábayizi ku Ssomero lya Kisakye e Mengo
Bya Mike Sebalu,
Ebintu ebibalirirwamu ssente ezitannaba kutegeerekeka muwendo bisirikidde mu nnabambula w’omuliro ogukutte ebisulo byábayizi bibiri ne ekizimbe okuli yafeesi ze ssomero lya Kisakye Nursery School e Mengo.
Essomero lino lisangibwa mita ntono okuva ku katale akakulu e Mengo. Omuliro gwatandise nkya ya leero ng’abaana bonna bali mu kibiina n’ekivuddeko omuliro tebinnaba kutegeerekeka.
Ebintu byessomero ne bya bayizi byonna bitokomose ne bisaanawo.
Okusinziira ku Godfrey Okobo, omuserikale okuva mu kitongole ekizikiriza omuliro eyabadde mu kifo kino, ebisulo bino tebyagoberedde mateeka agateeseddwa minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.