Amawulire
Omuliro gusanyizaawo emmaali yababazzi Kubbiri
Bya Ritah Kemigisa
Ababazzi nabasubuzi ku Kubbiri e Mulago, gebakaaba gebakomba, oluvanyuma lwokufiirwa ebyabwe ebitokomokedde mu muliro ogukutte ekifo webakolera.
Abatunda sanduuke zabafu, bebasinze okukosebwa mu njega eno.
Omuliro guno, poliisi yabazinya mwoto yasobodde okugulwanyisa nebaguzikiriza obutalanda okugenda mu bintu ebirala.
Bino bibaddewo ku ssaawa nga 7 mu kiro ekikeseeezza olwaleero, wabulanga tekinamanyika omuliro guno gwavudde ku ki.
Poliisi essubirwa okuvaayo okunyonyola mu alipoota yaabwe, ebsingawo ebikwata mu muliro guno nabbambula.