Amawulire
Omuliro Gusanyizzawo Ebiwera ku Bbiri E wandegeya
Omuliro gusanyizaawo obuyumba bw’abatunda entebe wali ku bbiri nga wakava e Wandegeya kumpi n’enkulungo y’emulago.
Obuyumba buno nga Obusinga bwambaawo bwebusaanyewo nga bananyini bwo kati bali mu maziga
Okusinziira ku akulira ekitongole kya poliisi ekizinya mooto Joseph Mugisa, bayitiddwa bukubirire nga bukya era baatuse dda mu kifo kino okuzikiza omuliro guno.
Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka naye kwo nga okunonyereza kukyagenda maaso.