Amawulire
Omuliro ku Kibuli SS- abazadde basabiddwa okukima abaana baabwe
Abazadde abalina abayizi mu senior esooka mu somero lya Kibuli secondary school basabiddwa okukima abaana babwe.
Kino kiddiridde omuliro okukwata ekisulo ky’abayizi era ebintu by’abaana 118 n’ebitokomoka.
Akulira esomero lino Bruhani Matovu, agambye nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku balubu eyabadde eyaka eyagudde ku buliri bw’omu ku bayizi, olwo amasuuka negakwata omuliro.
Matovu agambye nti tewali muyizi n’omu eyakoseddwa omuliro guno wadde ng’ebintu byasanyewo.
Wabula Matovu agambye nti kati embeera ezze mu nteeko era ng’abayizi abalala bazzeemu okukakkalabya emisomo.
Omungeri yeemu tusobodde okwogerako n’abayizi abakoseddwa omuliro guno nebategeeza nga bwebalabye ekitangaala okuyita wansi w’oluggi era owketegereza nga muliro.
Bano bagamba nti babadde tebali mu bisulo era nga nabo balumiriza nti yandiba nga balubu yeeyavudde waggulu n’egwa ku buliri