Amawulire

Omuliro ku kisulo ky’abayizi abawala

Omuliro ku kisulo ky’abayizi abawala

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omuliro gukutte ekisulo kyabayizi abawala ku ssomero lya St. Jude P/S mu Kabuga ke Idudi mu district ye Bugweri ebintu ebiwerako nebitokomoka.

Ssentebbe owa Idudi zone C essomero lino werisangibwa Sinani Mtega, agambye nti tewali muyizi yenna alumiiziddwa, ngomuliro wegubereddewo abayizi babadde bagenze mu bibiina.

Ono wabula alaze okutya nti guno gubadde mulundi gwakubiri, ngessomero lyerimu likwata omuliro mu bbanga eryemyezi 2.

Abatuuze bekozeemu omuliro nebazikiriza omuliro guno nga poliisi etuuse kikereezi.