Amawulire
Omuliro ku masomero
Amasomero agawerera dala 26 e Masaka gegakumiddwako omuliro abantu abatanategeerekeka mu myeezi 5 egiyise.
Okusinziira ku alipoota ya police aasomero agasinze okukosebwa mulimu St Gonzaga Senior Secondary School Kasambya nga lino lyaayokyebwa emirundi 2 mu wiiki 2 mu mwezi gwokuna , erya, African Child Primary School in Nyendo and St Mary Senior Secondary School Sanje in Rakai district namalala manji.
Akulira police yabazinya mooto mu kitundu kyamaserengeta Moses Muhanguzi agamba police yakizudde nga omuliro ogusinga bwegwakumwa bakalitima .
Muhanguzi, era anenya nyo abakulu bamasomero abeesuliddeyo ogwanagamba okuteeka munkola emitendera egyateekebwawo ministry yebyenjigiriza kungeri yokutangiramu omuliro okusaanyawo amasomero.
Wabula era agamba nti abayizzi mu masomero agamu nabo beenyigira mu kukuma omuliro ku bizimbe byamasomero gamba nga aba Gonzaga secondary school bwebeesala akajegere nebookya ekisulo kyabalenzi.
Wano wasabidde abakulu bamasomero okugula bukamera sako nokuwandiika abakuumi abalina obumanyirivu