Amawulire
Omulwadde abadde yesse
Omulwadde omulala abadde agezaako okubuuka okuva waggulu e Mulago ataasiddwa
Andrew Okembo abadde abuuka okuva ku mwaliro ogw’okusatu oluvanyuma lw’okumanya nti mutabani we atunze ente ye.
Mukyala we Liyada Nabirye agamba nti bba baamukuba katayimbwa e Kamuli Kireka era nga bba yakozesezza akakisa kano okutunda ente ye gy’abadde nayo yokka.
Mukyala we y’akubye enduulu oluvanyuma lw’okulaba bba ng’agezaako okwesuula wansi.
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba nti omusajja ono bagenda kubudabuuda okulaba nti taddamu kukemebwa.
Abantu abeesuula ku ddwaliro lino bbo bajja beyongera nga ssabiiti ewedde era waliwo eyesuula wanis n’afiirawo